EKIWANDIIKO EKY’ENJAWULO OKUVA MU OFIISI YA KATIKKIRO NGA (01/02/2012)

Katikkiro yebaza nnyo Obuganda n’abantu ba Ssaabasajja bonna olw’essanyu lye balaze olw’okuzaalibwa kw’Omulangira Richard Ssemakookiro.

Olw’ebbanga eddene eriyiseewo nga tewali mulangira azaaliddwa Kabaka nga ali ku Namulondo, abantu bangi tebamanyi oba tebajjukira bisaanidde kukolebwa wadde okw’ogerebwa ku nsonga nga eno.

Embeera eno ekozesebbwa abantu abamu naddala abatayagaliza Buganda ne Kabaka mirembe okwogera ebyakalebule nga mwemuli okutyoboola Namulondo, okugingaginga ebifaananyi n’okwogera ebigambo ebitayisibwa mu kamwa ebikwaata ku Kabaka  okukisa omukono.  Eky’ewunyisa nti ebisinga bikolebwa nga ekigendererwa kwekufuna ensimbi.  Kino kya buswavu nnyo era tukivumirira.

Omulangira n’Omumbejja owa Mujjaguzo bwazaalibwa waliwo obulombolombo n’emikolo egikolebwa abo b’ekikwatako nga mwemuli Kabaka, banakazadde ba Kabaka (Namasole, Nabikande); Kasujju, Mugema, Ssabaddu wa Buganda, Abakyala abakulu n’omuzaana azaala Omulangira. Emikolo egyo giba gya mu nnyumba era okufaanana n’ebika ebirala mu Buganda si gya mu lujjudde. Gyefananyiriza n’okwalula abaana mu bika ebirala era gitwaala akaseera  okugimaliriza.

Mu kiseera kino tewali nsonga yonna abantu, naddala bannamawulire, kwe basinziira okunoonya Omuzaana azaala Omulangira Ssemakookiro ate nga waliwo Abalangira n’Abambejja abatanoonyezebwangako  bazaana babazaala. Abo abanonyereza ebigendererwa byaabwe sibirungi ku lwa Buganda, abalala banoonya kukozesa kino kufuna nsimbi oba kuweebuula Namulondo. Mbasaba mubewale.

Kisaana kimanyibwe nti Ssaabasajja, okufaanana n’abakulembeze abalala, n’abantu abalala bonna, alina ensonga ez’omunju ezitatekeddwa kulingiriza wadde okuteberezebwaako (speculation).

Okuva kati, Obuganda tebujja kukkirizaanga kwetonda kwa muntu yenna kw’anaakolanga ng’amaze okwonoona erinnya lya Bbaffe n’okulinyirira ennono n’obuwangwa bwa Buganda mu ngeri eŋŋenderere.

N’olwekyo, njagala okutegeeza Obuganda bwonna nti  ensonga z’Omuzaana n’Omulangira Ssemakookiro tewali alina ddoboozi kubyo okuggyako nnyini nsonga Ssaabasajja nga ayise mu Katikkiro we.

Ssaabasajja Kabaka Awangaale!


Eng. J.B. Walusimbi
KATIKKIRO

 
His Majesty Ronald
Muwenda Mutebi II,
Kabaka of Buganda