The Kabaka of
of Buganda

 
 
 
Home
Prime Minister (Katikkiro)
Cabinet (Abeebitiibwa )
Parliament (Lukiiko)
Staff (Abakungu)
Counties (Amassaza)
Map of Buganda
Photo Gallery (Ebifaananyi)
Contacts
Katikkiro's Lukiiko Speeches
 
 
Bulange Twekobe Muzibu Azaala Mpanga Inside Muzibu Azaala Mpanga
Date: Sunday September 05, 2010
EMBALIRIRA Y’EBYENSIMBI Y’OMWAKA 2010/2011 PDF Print E-mail
Tuesday, 27 July 2010 17:36

Gavumenti Ya Ssaabasajja Kabaka erina:

OKWOLESEBWA (VISION)


Buganda okubeera Obwakabaka obunywevu nga Kabaka gwe mutwe gwabwo era nga bulina abantu abali obumu, abagunjufu, abayiiya, abakozi, abakulaakulana, ate abatambuliza Eggwanga lyabwe mu mirembe era abakolaganira awamu ne Bannayuganda bonna.

EKIRUUBIRIRWA (MISSION)


Okweyambisa eby’obuwangwa okukunga abantu okutumbula omutindo gw’embeera yaabwe mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

EKIGENDERERWA (GOAL)

Okusobozesa buli muntu wa Buganda okweyambisa by’alina okutuuka ku nkulaakulana eya nnamaddala.

EKINYUSI KY’EBIGENDERERWA BYONNA (CORE VALUE)


Obwakabaka bwa Buganda bukiririza mu nkulaakulana y’Obuwangwa ng’omusingi gw’enkulaakulana y’ebyenfuna, ebyobufuzi n’okutumbula omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.

EMBALIRIRA Y’EBYENSIMBI Y’OMWAKA 2010/2011

1.0    ENNYANJULA

1. Embalirira y’Ebyensimbi eya 2010/2011 egenda kwesigama nnyo ku y’omwaka 2009/2010 kubanga:

i. Embalirira ya 2009/2010 teyatuukirizibwa olw’ensonga nti ennyingiza yali waansi – ebitundu 40 ku buli 100 (40%);

ii. Mu mbalirira ya 2009/2010 mwalimu ebintu ebyategekebwa okukolebwa nga bikulu nnyo, naye nga tebinakolebwa, kyokka nga tetusobola ku bireka bulesi nga tebikoleddwa;

N’olwekyo emiramwa n’ebigendererwa ebyalambikibwa mu 2009/2010, awamu ne pulogulamu ne pulojekiti azannyonnyolwa mu mbalirira ey’omwaka ogwo bye bigenda okutambulizibwako embalirira ya 2010/2011.

Download the entire document1 here and dcoument 2 here

 
Programes | Health | Education | Development Policy | Diaspora | Clan Tribunal (Kisekwa) | Nkobazambogo | Bulungi Bwansi | Mail