Katikkiro Agenze America: BBNAC 2025

Amawulire May 20, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga abitaddemu engatto okugenda okwetaba mu lukuŋŋaaana lwa Buganda Bumu North American Convention (BBNAC) olutegekeddwa ku Omni Hotel e Boston. Ayogeddeko eri Bannamawulire nga tagenda ku kisaawe ky’ennyonyi, Entebbe.

Olukuŋŋaana lwa BBNAC lwatongozebwa mu mwaka gwa 2015 n’ekigendererwa eky’okukuŋŋanya abantu ba Kabaka ababeera mu America n’amawanga agalinanyewo okubakumaakuma, okubatusaako ebifa eka n’okubawuliza ku mbeera ez’enjawulo mwe bawangaalira. Olw’omwaka guno lwakutambulira ku mulamwa “Okwaŋŋanga okusoomoozebwa kw’endwadde z’emitwe ne mukenenya”. Lwakubaawo okuva nga 23-26 Muzigo.

Olukuŋŋaana olw’engeri eno lubeerawo buli luvannyuma lwa myaka 2 era lutambuzibwa mu bibuga eby’enjawulo era olwasembayo lwali mu kibuga Seattle. Olukuŋŋaana olw’engeri eno era lutambuziddwa ne ku ssemazinga endala nga omwaka oguwedde watongozebwawo olw’e Bulaaya n’olulala e South Africa ate n’awalala nga e Buwarabbu nayo watunuuliddwa.

“Abantu ba Kabaka bangi abali ebweru wa Buganda, abamu bali mu America, abalala Bulaaya, Buwarabbu, n’Ensi endala, ekigendererwa ekikulu eky’okusisinkana abantu baffe abali ebweru, kwe kubamanyisa ebifa eka n’okubirondoola kubanga omuntu yenna bw’aba tali mu kifo, ayinza okukaluubirirwa okugoberera ensonga eziri mu kifo ekyo” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga agamba nti okulambula kuno kuli wakati mu Nnamutayiika egoberera mu mirirmu gy’Obwakabaka nga kugendereramu okukuuma obuwangwa n’ennono za Buganda. Annyonnyola nti omuntu ne bw’abeera muganda ng’ali mu America azibuwalirwa okufuna obutereevu ebifa eka na bwekityo okubasisinkana kubeeramu okubabuulira ebifa eka nabo ne babuuza ebibuuzo ate ne babuulirwa ne ku nteekateeka za Gavumenti ya Kabaka ez’enjawulo.

Owoomumbuga era ategeezeza kikulu nnyo abantu abali ebweru wa Buganda okujjukizibwanga ku Buwangwa bwabwe nga Ebika byabwe, olulimi oluganda n’ebirala olwo nabo babisomese abaana be bazaalidde eyo oba abakuliddeyo. Akikaatiriza nti kino kibayamba okumanya nti baliko gye basibuka ate nga n’ebifa ku nsibuko yaabwe babimanyi era babigoberera, ne balema kwesiba ku nnimi ngwira zokka.

Katikkiro mu lugendo luno yetikka obubaka bwa Kabaka eri abantu be abali ebweru wa Buganda ate era atambula n’Abaami ba Kabaka abalala ku mitendera egy’enjawulo omuli Baminisita, Abaami b’Amasaza, Bassenkulu b’ebitongole n’abalala era bano baliko bye bagabana n’abantu ba Nnyinimu ku nsonga ezitali zimu ku bifa eka.

Olukuŋŋaana luno lutegekebwa abaami ba Kabaka ababeera mu masaza ga Beene ag’enjawulo era bano be bakunga abantu okulwetabamu wamu n’okwaniriza Katikkiro ne babeera atumbudde nabo. Wetukoledde eggulire lino nga Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki yatuuse dda e Boston.

Minisita Joseph Kawuki ayaniriziddwa Omwami wa Kabaka ow’Essaza lya New England, Owek. Henry Matovu Ndawula n’Omumyuka we Omuky. Phionah Nattabi Kafeero n’abalala. Bano kati balinze okwaniriza Katikkiro n’abo batambudde nabo.

LANGUAGE