Katikkiro acoomedde abantu abasiiba mu masinzizo ne balekayo okukola

Amawulire Jun 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mityana – Ssingo

Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga acoomedde abantu abalowooleza mu kusiiba n’okusula mu masinzizo ne balema okukola ebyo emirimu egivaamu ssente nga baagala ssente zive wa Katonda, bano abajjukiza nti Katonda awa abo abaliko kye bakola ng’abateera omukisa mw’ebyo bye bakozeeko.

“Abantu okulowooza nti baakusula mu masinzizo bawone ebizibu, ekyo kyakwerimba” Mayiga.

Katikkiro asinzidde mu maka g’Omulabirizi w’e Mityana Dr James Bukomeko bw’abadde atalaaga Buganda mu kaweefube wa Mmwaanyi Terimba. Asiimye Omulabirizi Bukomeko olw’okubeera eky’okulabirako eri endiga z’asumba anti ono naye alina omusiri gwe mmwaanyi zaalima.

Owek. Mayiga agamba nti abantu basaanidde okwegendereza abakulembeze b’eddiini abayigiriza nga babakuumira mu masinzizo ebbanga lyonna, agamba nti bano baba ng’abakema Katonda, okuba nti amagezi n’obuyiiya bye yabawa okukira ku bitonde ebirala ate bbo basalawo butabikozesa, abasabye okukozesa amagezi ago okulya ensi eno.

Ye Bishop James Bukomeko yeyamye ku lw’Obulabirizi bw’e Mityana okwongera okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda mu kawefube wa Emmwanyi terimba ng’agamba nti nabo nga ekkanisa 800 n’obusumba 705, bafuba okulaba nga abantu basimba emmwanyi ate n’abantu ababeetoolodde okuyigira ku kkanisa nga enkola bagitwala mu maaso.

Omulabirizi asabye bekikwatako obutataataganya bbeeyi ya mmwanyi ate n’abalimi okukuuma omutindo gwe bawa abasuubuzi.

LANGUAGE