
Bya Miiro Shafik
Munyonyo – Kyaddondo
Nnaabagereka ne Katikkiro basizza kimu nti ekimu ku biviriddeko endwadde z’emitwe n’obukosefu ku bwongo ensangi zino, be bantu okuggwamu essuubi ku nsonga ezitali zimu, bano babadde ku kyeggulo kya Nnaabagereka ekiyitibwa “Queens Ball” eky’okusonderako ensimbi okudduukirira abantu mu bintu ebyenjawulo.

Maama wa Buganda Nnaabagereka Sylvia Nagginda agamba nti wateekwa okubaawo okugatta amaanyi buli muntu asitukiremu okubaako ky’akola ku nsonga y’endwadde z’emitwe mu bantu, z’agambye nti ziva ku biragalalagala, abantu okuggwamu essuubi n’okusoomoozebwa okulala.
“Ffe aba Nnaabagereka Nagginda Women’s Fund Tujja kwongera okulwanyisa eky’abantu okutya okwogera ku mbeera eno kubanga singa tewabaawo kikolebwa mu bwangu ddala, omuwendo gw’abantu abafuna obuzibu ku bwongo gwandyeyongerera ddala ekintu ekyobulabe eri eggwanga lyaffe” Nnaabagereka Nagginda

Nnaabagereka ategeezeza nti bategeka ekijjulo kino si kusonda ensimbi kyokka, naye okuluubira okulaba nga bayambako abasawo abakola omulimu gw’okubudaabuda abo abalina obukosefu ku bwongo nga babagulira bikozesebwa n’okubazzaamu essuubi nga bayimirira nabo mu mbeera mwe Bali baleme kulowooza nti bali bokka. Bwatyo yeebaziza bonna abavuddeyo okutambula nabo mu nsonga eno okuyita mu ngeri ez’enjawulo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kwogera kwe, ategeezeza nti wakyaliwo obwetaavu obw’okwongera okubudaabuda abantu ababa bafunye okwennyika mu birowoozo ng’akikaatiriza nti ebirowoozo eby’okusoomezebwa by’ebiviirako abantu okufuna obukosefu ku bwongo abalala ne balwalira ddala n’emitwe.

“Abantu bangi bafuna emitima emibi okusinziira ku mbeera y’obwongo ate obwongo bwaffe bufumba ebirowoozo okusinziira ku mbeera ze tubeeramu oba ze tuyitamu nga ebbula lya ssente, okubulwa emirimu, okubulwa emikwano n’essuubi ne lituggweramu ddala” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga yebazizza Maama Nnaabagereka ne bonna abamukwatiddeko mu nsonga y’okulwana n’okudduukirira abantu abalina obukosefu ku bwongo era akinoganyiza nti abantu bwe banaayambibwako okujjanjaba emmeeme zaabwe ebikolwa nga obubbi, okukozesa ebiragalalagala, ettemu n’ebirala bisobolera ddala okukoma.
Ye Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke nga y’akiikiridde Minisita Choltilda Nakate avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka, mu bubaka bwe ategeezeza nti abantu bangi abafuna obukosefu ku mitwe kiva ku mbeera z’ebibasoomooza ng’obwavu, obutabanguko mu maka, okufiirwa abantu baabwe n’ebirala, agamba wateekwa okubaawo ekikolebwa abantu okubataasa ku mbeera ezibabiirako okwennyika n’abamu okwekyawa. Yebazizza Nnaabagereka olw’okuvaayo n’enteekateeka eyamba kw’abo abafunye obuzibu ku bwongo.

Ku lwa Nnaabagereka Nagginda Women’s Fund, Ssenkulu w’ekitongole kino Omuky. Suzan Lubega, yebazizza Bannamikago bonna n’abantu kinnoomu ababakwatiddeko mu nsonga eno, era agamba nti enteekateeka eno gye baatandikako omwaka oguwedde ey’okuyamba ku balwadde b’emitwe ewa essuubi kubanga ezuukusizza abantu bangi okumanya ku buzibu buno nti gye buli, abandi ne bamanya ne kwe buva era ne batandika okubwewala.
Ekyeggulo kino ekitegekeddwa ku Speke Convention Center e Munyonyo kya mulundi gwa kubiri era abantu ab’enjawulo baawaddeyo ensimbi okwongera okudduukirira kaweefube Nnaabagereka gw’aliko ow’okuyamba ku balina endwadde z’emitwe n’obukosefu ku bwongo.